WATU CREDIT UGANDA LIMITED: OBUBAKA OBUKWATA KU KUKUUMA BWIINO N’EBYAMA
Tetuvunaanyizibwa ku mawulire gakwata ku app ya ssimu
Obubaka obuweereddwa ku app zaffe ez’oku ssimu bwa kugasa abakozesa app yaffe era tebulina kutwalibwa ng’obuvunanyizibwa mu mateeka. App y’essimu ekoleddwa kuwa mawulire gokka era eyinza obutaba ya mazima oba okulaga embeera y’ebbanja eriwo kati. N’olw’ensonga eyo abakozesa bategeezabwa nti obubaka ku app tebusobola kukozesebwa kulwanyisa Watu Credit LTD nga ekitongole mu nkola zonna ez’amateeka. Okufuna amawulire amatuufu era agasiba mu mateeka agakwata ku mbeera y’ebbanja oba okubuuza okulala kwonna, abakozesa bakubirizibwa nnyo okutuukirira abalabirira bakasitoma mu Watu butereevu.
Obubaka obukwata ku kukuuma bwiino n’ebyama
Obubaka buno obukwata ku kukuuma bwiino n’ebyama bukutegeeza ku ngeri n’ebigendererwa ki Watu Credit Limited, amakampuni gaayo n’ebitongole ebikwatagana nabyo mu nsi ez’enjawulo (era ebiyitibwa “watu” “ffe” oba “ffe”) gye bigenda okukola ku bikwata ku muntu wo n’okunnyonyola eddembe lyo wansi w’amateeka agakwata ku kukuuma ebikwata ku bantu n’eby’ekyama, n’amateeka amalala gonna agakola mu bitundu eby’enjawulo mw’ekolera. Tusigala nga twewaddeyo okukwata ebikukwatako mu buvunanyizibwa , n’obunyiikivu era nga tugoberera ebisaanyizo byonna eby’amateeka okukakasa obulungi n’obukuumi bw’ebikukwatako.
Olw’ebigendererwa by’obubaka buno obukwata ku kukuuma bwiino n’ebyama, “ebikukwatako” kitegeeza amawulire gonna agakwata ku muntu amanyiddwa oba atamanyiddwa.
1. Enyanjula
1.1. Watu Credit Limited ekolera mu mbeera etunuulidde ennyo eyeetaaga okukola n’okukozesa ebikwata ku muntu okutuukiriza omulimu gwayo omukulu ogw’okukola ku ndagaano z’okusasula eby’obugagga eri abantu.
1.2. Ku Watu, tuwa ekitiibwa ebyama by’abantu era tutegeera omugaso gw’ebikukwatako ebituweebwa ba kasitoma baffe, abakozi baffe n’ebibinja ebirala. Buvunanyizibwa bwaffe mu mpisa eyetaagisa era ennungi okukola n’okukuuma ebikukwatako byonna ebituukagana n’amateeka agakwata ku bukuumi bw’ebyamawulire n’ebiragiro ebigenderako.
1.3. Obubaka buno obukwata ku kukuuma bwiino n’ebyama bunyonyola ebikwata ku bantu bye tukungaanya, engeri gye tubikozesaamu n’ekigendererwa ky’okubikozesa era n’oyo gwe tuyinza okutegeeza ebikwata ku bantu mu nkolagana yaffe. Era kilambulula engeri Watu gy’ekwata bwiino wo ali mu mikono gyayo era n’emiziziko Watu gye yassaawo okukuuma obulungi bwiino wo. Okweyongerayo, ekiwandiiko kino kirimu obubaka obukwata ku ddembe lyo ku ngeri y’okukola ku bikukwatako.
1.4. Tuyinza, okukyusa obubaka buno obukwata ku kukuuma bwiino n’ebyama emirundi n’emirundi, okusinziira ku mateeka agakyusiddwa oba empisa z’obusuubuzi. Tugenda kukola enkyukakyuka zonna ku mukutu gwaffe, okusaba, endagaano n’enkola. Enkyusa eyasembyeyo okufulumizibwa ey’ekiwandiiko kyaffe ejja kudda mu kifo ky’enkyusa zonna ezasooka sings kiba, okuggyako nga kiragiddwa bulala era ejja kubaawo okutegeeza bonna. Tujja kukutegeeza ku nkyukakyuka ez’omugaso ku kiwandiiko kino okuyita mu kutegeezebwa ku mutimbagano gwaffe oba okuyita mu ngeri yonna endala ey’empuliziganya.
1.5. Obubaka obukwata ku kukuuma bwiino n’ebyama bukola ku bagenyi baffe abatukyalira mu buntu ku matwale gaffe oba ku mutimbagano gwaffe, ba kasitoma baffe, abatuwa ebintu, ba agenti, abakozi n’abakwatibwako ensonga eno bonna.
2. Enyinyonyola y’ebigambo
2.1. Ffe/kyaffe/ebyaffe/ffe kitegeeza Watu Credit Limited (kampuni n’ebitongole byayo eby’enjawulo n’ebibiina ebikwatagana).
2.2. Omukungu avunanyizibwa okukuuma bwiino ye muntu alondeddwa oba olondeddwa kampuni okulondoola okugoberera amateeka agakwata ku kukuuma bwiino n’okukuuma eby’ekyama n’ebiragiro ebikolebwa wansi w’amateeka ag’enjawulo.
2.3. Okukungaanya bwiino kitegeeza okukungaanya obubaka obukukwatako.
2.4. Bwiino akukwatako kitegeeza obubaka obukukwatako nga bukwawula butereevu oba mu ngeri etali ya butereevu ng’omuntu ow’enjawulo nga erinnuya, ennamba y’omuntu, ebikwata ku kifo, ekintu ekimanyisa omuntu ku yintaneeti oba ensonga emu oba eziwera ezikwata ku muntu ow’obutonde, mu mubiri, mu buzaale, mu birowoozo, mu by’enfuna, ow’obuwangwa oba mu mbeera z’abantu. Bwiino akwata ku bantu gwe tukungaanya ajja kusinziira ku mbeera y’enkolagana yaffe naawe. Tuyinza okukungaanya, okukozesa, okutereka n’okukyusa ebika bya bwiino w’abantu eby’enjawulo ebikukwatako oba abantu abakulinako enkolagana.
2.5. Okukola kitegeeza omulimu gwonna oba ensengeka z’emirimu ezikolebwa ku bikukwatako oba mu ngeri ya otomatiki, gamba nga: okukungaanya, okuwandiika, okutegeka oba okusengeka; okutereka, okukyusakyusa oba okukyusa; okuzzaawo, okwebuuza oba okukozesa; okubikkula nga tuyita mu kubunyisa, oba mu ngeri endala okuteekebwawo; okulaganya oba okugatta, okukugira, okusangula oba okusaanyaawo.
2.6. Bwiino akukwatako ow’okwegendereza ye bwiino alaga ensibuko yo ey’amawanga oba ekika kyo, endowooza z’eby’obufuzi, obwa mmemba bw’ekikugu, n’okukola ku bwiino w’obuzaale n’ekigendererwa eky’okuzuula omuntu owaddala, bwiino akwata ku bulamu oba bwiino akwata ku kikula ky’omuntu.
2.7. Omuntu ow’okusatu kitegeeza omuntu ow’omubiri oba ow’amateeka, ekitongole kya gavumenti oba eky’obwannanyini, ekitongole ekirala kyonna ekitali ggwe ne watu, ekirina obuyinza obw’okukola ku byama byo wansi w’obuyinza bwa Watu.
2.8. Gwe/ Kikyo kitegeeza:
2.8.1. Omuntu yenna eyafuna era ng’akozesa app yaffe yonna ey’okussimu.
2.8.2. Omuntu yenna eyassa omukono ku ndagaano ne Watu.
2.8.3. Omukozi yenna akozesebwa Watu.
2.8.4. Agenti yenna, kayungirizi ne/ oba omusuubuzi eyassa omukono ku ndagaano ne Watu era nga amanyiddwa nga omusuubuzi oba agenti agoberera amateeka gonna agaliwo oba ebiragiro.
2.8.5. Omugenyi yenna nga muntu (omuli n’abakola kontulakiti/ abakola emirimu emitono oba omuntu yenna ow’okusatu) afuna omukisa okuyingira mu kifo kyonna ekya Watu.
2.8.6. Omusuubuzi/ omuwi w’empereza eyaweebwa omulimu mu Watu.
2.8.7. Munnamateeka ow’ebweru yenna eyassa omukono ku ndagaano y’empeereza ne Watu.
2.8.8. Omuwi w’empeereza oba ekitongole ky’ensimbi ekyassa omukono ku ndagaano ne Watu.
2.9. “Okukola” mu bujjuvu kitegeeza okukwata, okukungaanya, okukozesa, okukyusa, okugattika, okukwataganya, okutegeka, okusaasaanya, okutereka, okukuuma, okuzzula, okutegeeza, okusangula, okutereka, okugkuuma, okuzuula, okutegeeza, okusangula, okutereka, okuzikiriza, oba okusazaamu, obubaka obukukwatako.
3. Emisingi egy’awamu egy’okukuuma ebikukwatako mu Watu giri:
3.1. Tuli balambulukufu ku ngeri gye tugoberera amateeka agakola ku kukuuma ebikwata ku bantu.
3.2. Tukendeeza okukungaanya n’okukola ku bikwata ku bantu nga amateeka bwe galagira. Obubaka bwe tukungaanya ku gwe bujja kuba olw’ebigendererwa ebiragiddwa era ebituufu era tebijja kwongera kukolebwako mu ngeri atakwatagana na bigendererwa ebyo.
3.3. Tukola ku bikwata ku muntu ebikulu singa enkola eyo eba n’ensonga entegeerekeka era ennyonnyoddwa mu mateeka.
3.4. Tuwandiisa ebikwata ku antu ssekinnoomu abakoma ku kutuukiriza ekigendererwa ky’okulongoosa.
3.5. Tutegeeza abantu ssekinnoomu ebikwata ku muntu bye tukungaanya n’engeri ebikwata ku bantu bano gye binaaterekebwamu n’okukozesebwa.
3.6. Tukwata bwiino nga ey’ekyama ennyo era tukolaneby’okwelinda ebituufu eby’ekikugu n’eby’ekitongole okukuuma bwiino w’omuntu obutafiirwa oba okugifuna n’okugikozesa mu ngeri emenya amateeka.
3.7. Tukuuma ebikwata ku muntu okumala ebbanga lyokka ng abwe kyetaagisa okutuukiriza ebigendererwa bye byakungaanyizibwa, oba amateeka g’ekitundu gayinza okwetaagisa.
3.8. Singa okukola kwaffe ku bikwata ku muntu kiyinza okuleeta akabi ak’amaanyi eri eddembe ly’abantu ssekinnomu n’ebisale by’abantu, tujja kukola okwennenya ebikosa ebikwat ku kukuuma ebikwat ku bantu era,, bwe kiba kyetaagisa, tukole eby’okwerindaebituufu ng abwe kirambikiddwa ofiisi yokukuuma amawulire eya bwiino mu Uganda ne mu yonna ensi endala gye tulina ebikwekweto mu.
3.9. Enkola zaffe n’emitendera ziwagira okukuuma bwiino akwata ku muntu. Tukuuma ebiwandiiko ebiraga nti enkola n’emitendera gyaffe bikola ng abwe bigendereddwa.
3.10. We tugaba emirimu gy’okukola ku bikwata ku muntu, tussaawo obuvunaanyizibwa obw’endagaano okukuuma ebikwata ku muntu ono.
4. Lwaki tukungaanya bwiino akukwatako?
Tukungaanya bwiino akukwatako ku lw’emigaso gino wammanga:
4.1. We twetaaga okutuukiriza endagaano gye tunaatera okukola oba gye twakola naawe.
4.2. Okulaba oba nga osaanidde okufuna ebintu byaffe n’empereeza.
4.3. W’okkiririza okukozesa bwiino akukwatako.
4.4. We twetaagira okugondera oba okutuukiriza obuvunaanyizibwa obw’amateeka oba obw’ebiragiro era n’okwekuuma ne ba kasitoma baffe okuva ku bufere.
4.5. We twetaagira okukuuma ebyetaago byo eby’omugaso n’ebyetaago by’abantu abalala (ng’ekyokulabirako, nga tuwuliziganya n’abo b’owandiise nga b’oganyuddwa nabo/ omulabirizi w’obweyamo bwo).
4.6. Bwe kiba kyetaagisa olw’ebiruubirirwa byaffe eby’obwenkanya (oba eby’omuntu ow’okusatu) gamba ng’okukuuma ebiwandiiko byaffe, okwetegereza obuzibu, okulongoosa engeri gye tulabiriramu ba kasitoma baffe n’okwenyigira mu mirimu gyabwe awamu n’okugoberera ebisaanyizo byaffe eby’okumanya ba kasitoma bo (KYC).
4.7. Okussaawo, okukozesa oba okullwanirira eddembe lyaffe ery’omu mateeka, gamba nga bwe tuba twolekaganye n’omusango oba bwe tuba twagala okuwoza emisango.
4.8. Okutegeeza ku bintu ebipya n’empeereza (kwegayiridde weetegereze nti bw’oba toyagala kufuna bubaka bwaffe obw’okutunda osobola okubugaana ekiseera kyonna ng’otuwuliza ekiseera kyonna)
4.9. Okukuweereza obubaka obukulu gamba ng’enkyukakyuka mu bigambo byaffe, ebisale n’enkola zaffe, ebikwase, ebivuganyo, ebisale by’ebbanja, oba ekintu kyonna ekitali kya bulijjo ekikwatagana n’endagaano yo naffe.
4.10. Bw’osaba omulimu ku Watu oba netutegeera nti osaanidde okufuna omulimu, tuyinza okukozesa bwiino akukwatako mu kwekenneenya obusobozi bwo n’okukutuukirira ku by’okukuwa omulimu.
4.11. Bwe tufuna bwiino akukwatako okuva eri abantu abalala, tuyinza okubukozesa okukakasa obubaka bw’otukwasizza oba olw’okutangira obukumpanya.
4.12. Okutusobozesa okukuwandiisa mu buweereza bwaffe n’okukakasa obutuufu bwo n’obuyinza okukozesa obuweereza bwaffe.
4.13. Okukola ku nsonga z’obukumpanya oba obutebenkevu, oba okunoonyereza ku misango oba obukumpanya oba okwemulugunya okuteeberezebwa.
4.14. Okulondoola n’okwekenneenya emikutu gyaffe olw’ebigendererwa by’okuddukanya enkola, okuddukanya, okugezesa n’okuwagira.
4.15. Okukolagana, okuddamu okusaba okuva, n’okutegeeza eby’okukola n’ebikolwa ebirala eri gavumenti, ebitongole ebikola ku by’emisolo oba ebifuga, oba abawi b’ebiragiro abalala oba bannaabwe, kkooti oba abantu abalala.
5. Bwiino akwata ku ani gwe tukungaanya?
Tukungaanya bwiino akukwatako kubanga oli kasitoma waffe oba enkolagana endala ey’omuwendo.
6. Tukungaanya tutya bwiino akukwatako?
Tukungaanya bwiino akukwatako ng’otegedde era ng’okkirizza. Tuyinza okukungaanya bwiino akukwatako okuyita mu ngeri yonna ku zino: (Tukusaba otegeere nti olukalala luno teruweddeeyo):
6.1. Butereevu okuva mu gwe, okugeza nga oyingira enkolagana naffe nga kasitoma oba omukozi,
6.2. Okukyalira ebifo byaffe oba omutimbagano,
6.3. Okufuna app zaffe n’okwewandiisa,
6.4. Okwewandiisa mu mpuliziganya yaffe,
6.5. Okwewandiisa ku mukolo, okusaba omulimu,
6.6. Okuva mu nsonda endala, gamba ng’abakolagana nabo mu bizinensi,
6.7. Nga tukwatagana n’emitimbagano gyaffe. Tukungaanya bwiino ono akukwatako nga tukozesa kukisi ne tekinologiya ow’engeri eyo. Osobola okufuna ebisingawo ku bino mu kukisi zaffe n’enkola y’omutimbagano,
6.8. Okuva mu nsonda ezimanyiddwa mu lujjudde omuli:
6.9. Endaga muntu n’ebikwata ku bantu okuva mu gavumenti ya Uganda ez’oku mutimbagano ez’okuwandiisa abantu ng abwe bibeera mu nsi endala yonna gye bakungaanyiziddemu obubaka.
6.10. Endaga muntu n’ebikwata ku bantu okuva mu nsonda ezimanyiddwa gamba nga okuwandiisa kkampuni n’empeereza y’okuwandiisa bizinensi.
6.11. Enkolagana, eby’ensimbi n’empuliziganya okuva mu biwandiiko by’ettaka, ebiwandiiko by’amakolero ng’ebitongole ebikuumira ebiwandiiko by’ebbanja, ebitongole ebikuuma obutali bwenkanya n’abo abawa obuweereza mu by’ekikugu, okusasula n’okuweereza.
6.12. Abakugu mu by’obujjanjabi n’amalwaliro.
6.13. Emikutu gy’empuliziganya – bw’oba omuntu ayinza okuweebwa omulimu mu Watu, tuyinza okuba nga twafuna ebikwata ku bantu bo okuva mu bantu ab’okusatu nga abawandiika abantu oba emikutu gy’empuliziganya egy’ebweru.
6.14. Butereevu okuva mu muntu sekinnoomu.
6.15. Butereevu okuva mu muntu akola okusaba, era nebateekamu obubaka obukukwatako nga bukwatagana n’okusaba kwabwe.
6.16. Okuva mu b’enju yo bwe baagala okumanya ku kufuna ekintu oba okukuteekamu nga ow’oluganda lwabwe addirira.
6.17. Ttivvi ey’ebitundu ebyekusifu (CCTV) ebikwata ku kulondoola. Ebyuma bya CCTV biteekebwa mu bifo eby’enjawulo mu matwale ga Watu okuwa embeera erimu obukuumi.
Bw’osalawo okukolagana naffe mu ngeri yonna eragiddwa wansi w’akawaayiro 6.0 waggulu, ojja kuba okikola ng’omanyi bulungi era ng’okkirizza nti tujja kukungaanya n’okukola ku bwiino akukwatako. Bw’okkiriza, otuwa olukusa okukungaanya, okukwata, okutereka, okutegeeza n’okuyisa obubaka bwo ng abwe kiragiddwa wansi w’etteeka ly’okukuuma obubaka n’ebiragiro ebigirimu.
7. Bwiino ki akukwatako gwe tukungaanya?
Obubaka obukwata ku muntu bwe tukola buyinza okubaamu:
7.1. Obubaka obukwata ku muntu nga erinnya, olunaku n’ekifo we yazaalibwa, ennamba ya kaadi y’eggwanga, ennamba ya paasipooti, ennamba y’ekitongole ekivunanyizibwa ku musolo (PIN), ekifaanayi, embeera y’obufumbo, ekyapa, eggwanga, ekikula ky’omuntu, n’omukono gw’ekyokulabirako.
7.2. Obubaka bw’okuwuliziganya nabwo gamba nga endagiriro ya yimeyiro, endagiriro ya posita, endagiriro entuufu, endagiriro y’okubeera, n’ennamba y’essimu.
7.3. Obubaka obukwata ku by’ensimbi nga ebikwata ku akawunti ya bbanka, ebikwata ku kaadi y’okusasula, sitatimenti za ssente z’oku ssimu, enyingiza, ebyafaayo by’ebbanja, obusobozi bw’okuwola, sitatimenti za bbanka, ebikwata ku kusasula okuva gy’oli oba n’ebikwata ku bintu n’obuweereza ebirala by’ofunye ng’oyita mu ffe.
7.4. Obubaka obukwata ku kwenyigira kwo mu nsonga eyaleetawo ebbanja.
7.5. Obubaka obukwata ku kika kya bizinensi yo n’eby’obugagga eby’obusuubuzi.
7.6. Obubaka obukwata ku mirimu gy’okolera nga erinnya lya mukama wo, ekifo kyo mu kitongole n’endagiriro ya yafeesi.
7.7. Bwiino akwata ku baana nga erinnya, olunaku lw’okuzaalibwa n’ekikula.
7.8. Ebikwata ku muntu ebikulu nga embeera y’obufumbo, ebikwata ku bintu, embeera y’obulamu n’ebikwata ku maka (gamba ng’ab’engaanda ez’oku lusegere n’abaganyulwa).
7.9. Obubaka bw’okussubula n’obw’empuliziganya omuli n’ebyo by’oyagala mu kufuna obubaka bw’okusuubula okuva gye tuli n’empuliziganya okuva gye tuli.
7.10. Obubaka obukubibwa ku mutimbagano buli lw’oyingira ku mukutu gwaffe ogwa yintaneeti n’ebikozesebwa ku yintaneeti gamba nga kukisi, obubaka bw’okuyingira, endagiriro ya IP (endagiriro ya yintaneeti ya kompyuta yo), ekika ky’omutaputa n’enkyusa yaakyo, ISP oba erinnya ly’ettaka ly’enkola y’emirimu, obudde bw’oyingiramu, ebifaananyi by’empapula n’obubaka bw’ekifo.
7.11. Ebikwata ku kifo- tuyinza okusaba okuyingira oba okuweebwa olukusa okulondoola ebifo ebyesigamiziddwa ku bubaka okuva ku kyuma kyo eky’omu ngalo, mu ngeri ey’omuddiringanwa oba ng’okozesa enteekateeka zaffe ez’omu ngalo, okusobola okuwa obuwereza obwesigamiiddwa ku bifo ebimu. Bw’oba oyagala okukyusa olukusa lwaffe, oyinza okukikola mu nsengeka z’ekyuma kyo.
7.12. Okuyingira mu ssimu ey’omu ngalo- tuyinza okusaba olukusa eri ebintu ebimu okuva mu ssimu yo, omuli obubaka bw’essimu yo, n’ebirala. Bw’oba oyagala okukyusa olukusa lwaffe, oyinza okukikola mu nsengeka z’ekyuma kyo.
7.13. Obubaka obuva ku kyuma ky’essimu- tukungaanya butereevu obubaka bw’ekyuma (nga ID y’ekyuma kyo eky’oku ssimu, model, n’omukozi), enkola y’emirimu, obubaka obukwata ku nsengeka y’enkola, ennamba z’ebyuma n’enkola, ekika kya browser n’enkyusa, omuwa empeereza ya yintaneeti ey’ekyokulabirako kya hardware ne /oba omutwala ku ssimu, n’endagiriro ya yintaneeti protocol (IP) (oba proxy server). Bw’oba okozesa app zaffe, tuyinza era okukungaanya obubaka obukwata ku mukutu gw’essimu ogukwatagana n’essimu yo eyo mungalo, enkola oba emikutu, ekika ky’essimu y’omungalo gy’okozesa, n’obubaka obukwata ku ngeri za pulogulaamu zaffe z’okozesa.
7.14. Okutegeezebwa okw’obutereevu- tuyinza okukusaba okutusobozesa okukuweereza okutegeezebwa okw’obutereevu okukwata ku akaawunti yo ey’omuguzi oba ebintu ebimu ebiri mu nkola za app. Bw’oba oyagala okulekera okufuna empuliziganya nga zino, oyinza okuzijjako mu nsengeka y’essimu yo.
Singa waliwo obwetaavu obwesigika obw’okumanya ebikwata ku bantu abalala abakukwatako, tuyinza okukusaba otuwe obubaka obukwata ku bantu abo. Singa owa obubaka obukwata ku muntu omulala, tukusuubira okukakasa nti bamanyi nti okikola era bamativu n’obubaka obutuweebwa. Kiyinza okuyamba okubalaga ekiwandiiko kino ekikuuma bwiino era bwebaba balina ekibuuzo kyonna, tukusaba otutuukirire ku kyekimu.
8. Ani gwe tugabana naye ebikukwatako?
8.1. Tuyinza okugabana ebikukwatako n’ebitongole ebirala ebiri mu kibiina kya Watu okukola ku bikukwatako nga bigoberera omulamwa. Ebikwata ku muntu era biyinza okuabanyizibwa n’emikwano gya Watu abesigika, gamba nga abasuubuzi, abakola ebintu n’abantu ab’okusatu abalagiddwa abawandiikiddwa wansi, okutuukiriza ebigendererwa. Tujja kukakasa nti ebiragiro ebituufu eby’endagaano biteekebwa mu nkola okukakasa nti bwiino wo akuumibwa nga omutegeeza omuntu ow’okusatu.
8.2. Okusinziira ku ddembe lyo n’amateeka agafuga, tuyinza okugabana obubaka bwo obw’obuntu n’abantu ab’okusatu aboogerwako wammanga:
8.2.1. Gavumenti oba ab’obuyinza bwe kiba kyetaagisa okusinziira ku mateeka, eby’omugaso eri abantu bonna, eby’okwerinda kw’eggwanga, ebiragiro, enkola y’amateeka oba okusaba kwa gavumenti okw’amaanyi.
8.2.2. Abantu oba ebitongole by’osaba butereevu okubasindikira obubaka obukukwatako.
8.2.3. Abengaanda zo, abalabirizi bo oba abantu abakolera ku lulwo ng’oli mulema oba olw’ensonga z’okuteekawo abaganyulwa bo.
8.2.4. Aba yinsuwa, abaddamu okukola yinsuwa, ne ba bulooka ku mpeereza ya yinsuwa.
8.2.5. Abawabuzi baffe abakugu nga abalabirizi b’ebitabo, abawabuzi ku misolo, aba yinsuwa, abaddamu okukola yinsuwa, ebitongole by’ebyobujjanjabi, n’abawabuzi b’amateeka abakola ku lulwo, oba abakiikirira omuntu omulala ow’okusatu.
8.2.6. Ebitongole by’ebyobujjanjabi n’abakugu gye tuyinza okwetaaga okufuna ebiwandiiko byo eby’ebyobulamu n’okukeberebwa olw’ebigendererwa ebitongole.
8.2.7. Ebitongole ebisolooza amabanja, ebitongole ebisolooza ebiwandiiko by’amabanja, bye tunaakola endagaano okutuwa obuweereza.
Singa ebikwata ku muntu biba bikyusibwa ebweru w’eggwanga ery’okukungaanya n’okukola ku bikwata ku muntu, enkola ezisaanidde zijja kukolebwa okulaba ng’ebikwata ku muntu wo bikuumibwa.
9. Tutereka tutya bwiino akukwatako?
Watu ekuuma obukuumi obutuufu obw’ekikugu n’ekitongole obutakola ku bikwata ku muntu mu ngeri etakkirizibwa n’okufiirwa, okusaanawo, oba okwonooneka mu butanwa.
10. Bwiino akukwatako tumukuumira bbanga ki?
10.1. Tujja kukuuma obubaka obukukwatako okumala ebbanga lyokka erisaanira okutuukiriza ekigendererwa kye tubukungaanyiziddemu, nga mw’otwalidde n’okutuukiriza ebigendererwa eby’amateeka, eby’omusolo, eby’okubala oba eby’okuwa lipoota.
10.2. Tuyinza okusigaza ebikukwatako okumala ebbanga eggwanvu ko singa wabaawo obwetaavu nga:
10.2.1. Kyetaagisa oba kikkirizibwa mu mateeka.
10.2.2. Kyetaagisa olw’ekigendererwa ky’amateeka.
10.2.3. kikkirizibwa oba nga gwe okkirizza.
10.2.4. kyetaagisa okusobola okuddamu okwemulugunya oba singa tukkiriza nti waliwo essuubi ery’okuwoza emisango ku nkolagana yaffe naawe.
10.2.5. Olw’ebyafaayo, ebibalo, bannamawulire, ebiwandiiko n’eby’emikono oba okunoonyereza.
11. Tukuuma tutya ebikukwatako?
11.1. Tutaddewo enkola y’ebyokwerinda ey’omugaso okuziyiza ebikukwatako okubula, okukozesebwa oba okufunibwa mu ngeri etakkirizibwa, okukyusibwa oba okubikkulwa.
11.2. Okugatta ku ekyo, tukoma ku kuyingira ku bikwata ku bantu bo eri abakozi abo, ba agenti, abakola kontulakiti n’abantu abalala ab’okusatu abalina bizinensi abeetaaga okumanya. Bajja kukola ku bikukwatako ku biragiro byaffe byokka, era balina omulimu gw’okukuuma ebyama.
12. Eddembe lyo nga omuntu eyeetaaga bwiino lye liruwa era oyinza otya okulikozesa?
Olina eddembe lya:
12.1. obubaka obukwata era olukusa ku bwiino akukwatako;
12.2. okutereeza bwiino wo;
12.3. okusangula bwiino wo (eddembe ly’okumwerabira);
12.4. okuziyiza okukozesa bwwino wo;
12.5. okwemulugunya ku kukozesebwa kw’ebyama byo;
12.6. okufuna ebikukwatako mu ngeri entegeke, ekozesebwa ennyo era esomebwa mu kyuma era, we kiba kisoboka mu by’ekikugu, ebikukwatako biweerezeddwa eri ekitongole ekirala;
12.7. okuwaayo okwemulugunya mu yafeesi y’obukuumi bw’obubaka mu Uganda era ne mu mulabirizi mu nsi endala yonna nga waliwo ekikyamu oba akatyabaga akaliwo ekikwata ku ngeri gye tukwatamu ebikukwatako.
Okuteeka mu nkola eddembe lyo, tukusaba oweereze obubaka ku: [email protected]
Wayinza okubaawo embeera eziziyiza eddembe lyo, naddala singa okukola ku bikukwatako kyetaagisa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe mu mateeka.
13. Enkola zaffe ez’obukuumi
13.1. Twewaddeyo era tulina okussa mu nkola enfuga zonna ezisaanidde okukuuma okuyingira mu bikukwatako.
13.2. Abali ku ludda olw’okusatu bwe baba nga balina okukola ku by’okumanya ebikukwatako ng’omuntu ku lw’ebigendererwa ebiragiddwa mu kiwandiiko kino era n’ensonga endala eziri mu mateeka, tukakasa nti balina endagaano okuteeka mu nkola eby’okwerinda ebisaanira.
13.3. Enkozesa yonna ey’omutimbagano gwaffe ekuumibwa okuyita mu kukweka okw’obukuumi okusinziira ku mitindo gy’ensi yonna egy’enkola ennungi.
14. Tukungaanya bwiino okuva ku baana abataneetuuka?
14.1. Tetukungaanya bwiino nga tukimanyi oba okukola emirimu gyekituunzi ku bantu abali wansi w’emyaka 18 egy’obukulu, era abayitibwa abaana abato.
14.2. Tetunoonya bwiino nga tukimanyi oba okukola obwa kitunzi ku baana abali wansi w’emyaka 18 egy’obukulu. Okukozesa empeereza, kitegeeza nti olina ekitono ennyo emyaka 18 oba oli muzadde w’omwana oyo era okkiriza omuto oyo okukozesa empeereza zaffe. Bwetukitegeera nti obubaka bw’omuntu akozesa ng’ali wansi w’emyaka 18 bwakungaanyizibwa, tujja kusazaamu akaawunti era tukole ekyetaagisa okusangulira ddalabwiino oyo okuva mu biwandiiko byaffe. Singa omanya ku bwiino yenna, nga tuyinza okuba twamukungaanya okuva ku baana abali wansi w’emyaka 18, tukusaba otutuukirire ku [email protected]
15. Okweyambisa obubaka ne sitatimenti ezikwata ku kukebera amabaluwa
15.1. Enkola z’empuliziganya n’obubaka bwaffe bya kweyambisa mu bizinensi. Wabula, tukitegedde nti abakozi baffe oluusi beeyambisa enkola zaffe okukozesa ebyabwe nga bbo.
15.2. Okukozesa ebyabwe nga bbo mulimu okuweereza n’okufuna amabaluwa munda n’ebweru wa watu. Wadde nga abakozi baffe bakwatibwako amateeka amakakali ag’okukozesa n’okukuuma eby’okwerinda, tetukkiriza buvunanyizibwa ku biri mu bubaka obw’obwannanyini obutumibwa abakozi baffe nga bakozesa enkola zaffe.
15.3. Wetegereze nti tuyinza okukwata, okukebera n’okugyawo obubaka bwonna obukolebwa, obuteekebwawo, obuweerezebwa oba obuweebwa nga tukozesa enkola zaffe, okusinziira ku mateeka gonna agaliwo.
16. Okutuukirira
Tulonze omukungu avunanyizibwa ku kukuuma ebikwata ku bantu avunanyizibwa ku kulabirira ebibuuzo ebikwata ku sitatimenti eno ey’okukuuma ebikwata ku bantu. Bw’oba olina ekikweraliikiriza ku nkozesa y’ebikukwatako, ebibuuzo ebikwata ku bantu omuli n’okusaba kwonna okukozesa eddembe lyo ery’amateeka wansi w’amateeka, tukusaba otutuukirire ng’okozesa ebikwata ku nsonga eyo wammanga:
Endagiriro ya yimeyiro: [email protected]
Endagiriro ya posita: P.O. Box 16225 Kampala Uganda
Endagiriro ey’addala: Plot 2 Bukoto Oluguudo
Ennamba y’essimu: +0800 202 777
Olunaku lw’okutandika okuteeka obubaka mu nkola: Apuli nga 1, 2024
Obubaka buno obw’okukuuma bwiino n’ebyama bwasembayo okutereezebwa nga (Apuli 1st, 2024)
WATU CREDIT UGANDA LIMITED: OBUBAKA OBUKWATA KU KUKUUMA BWIINO N’EBYAMA
ENKYUSA Y’EKIWANDIIKO: V.1.1
OKUWULIKIKA: OLUJJUDDE